Add parallel Print Page Options

14 N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi. 15 Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe. 16 (A)N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale[a].” 17 (B)Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:16 Yeekaalu ya Mukama yalina ekifo Bannaggwanga we baakuŋŋaaniranga ne basinza, nga bazze mu Yeekaalu. Kyokka bakabona baali bakifuusizaamu akatale abaawangayo Ssaddaaka we baggyanga eby’okuwaayo ku lunaku lwa Ssabbiiti.