Zabbuli 86:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
Okubala 14:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)‘Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’
Read full chapter
Abaruumi 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
Read full chapter
Nekkemiya 9:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka.
Read full chapter
Zabbuli 103:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
Yoweeri 2:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Muyuze emitima gyammwe
so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
Zabbuli 108:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.