Zabbuli 55:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Naye ggwe, Ayi Katonda,
olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.
Naye nze, neesiga ggwe.
Okubikkulirwa 21:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.