Zabbuli 106:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
106 (A)Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
1 Ebyomumirembe 16:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Ebyomumirembe 20:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,
“Mwebaze Mukama
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.