Yobu 31:9-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10 (B)kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
n’abasajja abalala beebake naye.
11 (C)Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
Oluyimba 8:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
asekererwa nnyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.