Yeremiya 29:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)“Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba,
Read full chapter
Yeremiya 20:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”
Read full chapter
Yeremiya 29:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba.
Read full chapter
Okukungubaga 2:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
Ezeekyeri 13:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.