Yeremiya 25:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
Olubereberye 19:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.”
Read full chapter
Zabbuli 107:33-34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Afuula emigga amalungu,
n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (B)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.