Omubuulizi 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.
Omubuulizi 2:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba?
Read full chapter
Omubuulizi 3:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe?
Read full chapter
Omubuulizi 5:15-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
16 (B)Na kino kya bulumi bwereere:
nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.