Olubereberye 37:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu.
Read full chapter
1 Samwiri 31:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)N’oluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi w’omumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.
Read full chapter
2 Samwiri 13:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
Read full chapter
Yobu 7:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Taliddayo mu nnyumba ye,
amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
Yobu 10:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.