Olubereberye 2:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo.
Read full chapter
Olubereberye 13:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola.
Read full chapter
Ezeekyeri 28:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Wali mu Adeni,
ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
sadio, topazi, alimasi, berulo,
onuku, yasipero, safiro,
ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.