Matayo 15:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
Read full chapter
Abaruumi 14:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo.
Read full chapter
Abaruumi 14:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.
Read full chapter
Abaruumi 14:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala.
Read full chapter
1 Abakkolinso 10:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe.
Read full chapter
1 Timoseewo 4:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
Read full chapter
1 Timoseewo 4:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza,
Read full chapter
Tito 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.