Kaggayi 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
Read full chapter
Kaggayi 1:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,
Read full chapter
Isaaya 1:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
twandifuuse nga Ggomola.
Kaggayi 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti,
Read full chapter
Isaaya 50:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ani ku mmwe atya Mukama,
agondera ekigambo ky’omuweereza we?
Oyo atambulira mu kizikiza,
atalina kitangaala
yeesige erinnya lya Mukama
era yeesigame ku Katonda we.
Ekyamateeka Olwokubiri 31:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Okuŋŋaanyanga[a] abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.
Read full chapterFootnotes
- 31:12 Ye mbaga yokka eyabeerangako abakyala n’abaana, nga bazze okuwuliriza ebyasomebwanga mu Mateeka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.