Isaaya 12:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
Zabbuli 8:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
Zabbuli 113:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.