Ezeekyeri 17:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ”
Read full chapter
Isaaya 27:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Amatabi gaakyo bwe gakala,
gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
eyamukola tamusaasira,
n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.
Ezeekyeri 28:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Omutima gwo gwalina amalala
olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
Koseya 13:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.