Engero 13:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,
naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
Engero 15:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Okuddamu obulungi kisanyusa,
era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
Engero 18:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
Isaaya 3:10-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (B)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.