Ekyamateeka Olwokubiri 31:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”
Read full chapter
Yeremiya 23:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
okutuusa ng’amaze okutuukiriza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.
Koseya 3:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.