Ekyamateeka Olwokubiri 31:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’
Read full chapter
2 Bassekabaka 1:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi[a] bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.
Read full chapterFootnotes
- 1:2 Baaluzebubi kitegeeza “mukama w’ensowera.” Erinnya eryo likozesebwa okunyooma katonda w’Abakanani ayitibwa Beeruzebuli (omulangira w’abadayimooni) mu Matayo 10:25; 12:27.
Engero 6:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru
6 (A)Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2 Bassekabaka 16:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Awo Akazi n’atuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; n’okuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye[a].”
Read full chapterFootnotes
- 16:7 Ekikolwa ekyo ekya Akazi kyaleetera Yerusaalemi okuggyibwako obwetwaze bwakyo
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.