Ekyamateeka Olwokubiri 24:14-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. 15 (B)Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.