Add parallel Print Page Options

13 (A)“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye.

“Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.

Read full chapter

(A)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

Read full chapter

Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”

Read full chapter