2 Samwiri 15:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”
Read full chapter
2 Samwiri 15:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu.
Read full chapter
2 Samwiri 16:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amagezi Kusaayi ne Akisoferi ge baawa
15 (A)Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye.
Read full chapter
2 Samwiri 16:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 27:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,
ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.
Yobu 19:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
mikwano gyange ginneerabidde.
Zabbuli 41:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
bwe twalyanga,
anneefuukidde.
Zabbuli 55:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Naye ggwe munnange,
bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
Yeremiya 9:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Yoswa 15:51
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
51 (A)n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.
Zabbuli 3:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.
3 Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.