1 Samwiri 18:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya.
Read full chapter
1 Samwiri 18:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo.
Read full chapter
1 Samwiri 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.
Read full chapter
1 Samwiri 28:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?”
Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.