1 Samwiri 17:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.”
Read full chapter
Okubala 21:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti,
“Vakebu ne Sufa,
n’ebiwonvu bya Alunoni,
1 Samwiri 25:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kw’omuweereza wo, era Mukama talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obw’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ez’obulamu bwo.
Read full chapter
1 Samwiri 18:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.