Add parallel Print Page Options

28 (A)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.”

Read full chapter

15 (A)Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,[a] kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:15 kitegeeza Omugga Fulaati

23 (A)Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi.

Read full chapter

(A)Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu.

Read full chapter

31 (A)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali.

Read full chapter